OKUKYUSA EBIRI MU NDAGAMUNTU :Kati kwakusasulirwa emitwalo 30
Olukiiko lw'aba Minisita oba cabinate lusazeewo nti omuntu aliko byayagala okukyusa mu ndaga muntu ye alina okusasula emitwalo amakumi asatu.Ku kino abantu babadde basasula emitwalo etaano.Ssente zino ezigerekeddwa zaakutandika mu September w'omwaka guno nga okufuna obugya n'okuzza obugya densite kutandika.Wabula Miniista w'ebyamawulire n'okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi ategeezezza nti wabula abo abafuna amannya amagya oba okusuula amakadde olw'ensonga z'obufumbo enteekateeka ya ssente empya tebakwatako.