OKUKWATA ERINNYA LYA PFF: Lukwago ne banne bawadde akakiiko k’ebyokulonda nsalessale
Akakiiko k'ebyokulonda kasoomozeddwa okukwata ensonga y'abakulira ekibiina ki FDC ekiwayi ky'e Katonga abali mu kuwandiisa ekibiina mu ngeri etalaga nti kalimu kyekubiira. Kiddiridde ab'ekatonga okuwa akakiiko k'ebyokulonda nsalessale wa wiiki emu okuba nga kabawadde empapula kwebagenda okuwandiisiza ekibiina kyabwe ekipya ssaako n'okubakakasa ku ky'erinnya lye baagala okukiwa erya people's front for freedom oba PFF. Wiiki ewedde, akakiiko k'eby'okulonda kaalabula abakulu bano nga laangi ya bbululu gye baagala okukozesa bw'erina ekibiina ekigikozesa so nga n'erinnya lyennyini lyefaananyiriza ery'ekisinde ekirala ki People Power Front.