Okukungubagira Paapa Francis, Vatican ekakasizza nti missa entongole ya ku lwamukaaga
Kikakasiddwa nti okukungubagira Paapa Francis mu butongole kwa kubeerawo ku Lwomukaaga luno e Vatican. Mu kiseera kino, ebisigalira bye biteereddwa mu Kelezia y'omutuukirivu Peteero nga bisobola bulungi okulabwa awatali kumubikkako.Ebikumi n'ebikumi by'abakkiriza ne kati bakyeyiwa mu kibangirizi ky'ekelezia y'omutuukirivu Peteero okukungubagira omulangira w'ekelezia eyavudde mu bulamu bw’ensi eno olunaku lw’eggulo.