OKUGOBA ABANTU KU TTAKA : Waliwo abakwatiddwa ku biragiro bya minisita Mayanja
Waliwo abasajja babiri abakwatiddwa e Mpeggwe mu district ye Wakiso nga babalanga kumala bbanga nga bagobaganya abatuuze ku Tttaka Kino kiddiridde abatuuze okuddukira ewa minister omubeezi ow’ebyettaka Sam Mayanja nga bemulugunya kubantu abeeyita bannannyini ttaka okubagobaganya saako nokuwamba abantu baabwe Abatuuze era balumirizza poliisi okwekobaana n'abantu bano okubatulugunya nga gyebigweredde nga minister alagidde n’abaserikale ku poliisi ye Kakiri bonna okukyusibwa.