Okuggya obwesiga mu ba kamisoona: Ssekikubo abuzaayo omukono gumu
Ababaka abanoonya emikono gy’okuleeta ekiteeso ekigoba ba kamisona ba palamenti bana nga balumirizibwa okwezza akawumbi kamu n’obukadde lusanvu bagamba nti basigazayo omukono guno gwokka okubatuusa ku buwanguzi bwebazze nga banoonya.
Olwaleero bano basobodde okufuna emikono ena, era nga kati bagamba nti ensolo ku kizigo kweeri.
Bino bibadde ku palamenti.