Okufunira embuto mu ssomero, waliwo abaagala ennongoosereza mu tteeka
Akakiiko akalera obwenkanya ka Eqaul Oppotunities Commission kaagala wabeerewo enongosereza mu mateeka g’ebyenjigiriza , abaana abafunye embuto nga bali mu ssomero bakkirizibwe okusigala nga basoma.Bano bagamba nti abaana bangi bafuna embuto mu butanwa, kyoka olw’amateeka amakakali bangi ku bbo ebiseera byabwe eby’omumaaso awo w’ebikoma.Bano okwogera bino babade basisinkanye n’abakwatibwako ensonga mu byenjigiriza , bakkaanye ku ngeri omuwaatwa guno gyeguyinza okuzibwa.