Okufuna ekyojamumiro: E Gomba abakulu basatu basindikiddwa ku alimanda
Eyali akulira akakiiko akagaba emirimu mu disitulikiti ye Gomba John Bosco Mugerwa n’eyali omuwandiisi waako Michael Muwonge basindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 25 omwezi ogujja oluvannyuma lw’okuggulwako emisango gy’okuggya ssente ku bantu nga babasuubizza emirimu Bano leero balabiseeko mu kkooti esookerwako e Kanoni oluvannyuma lw’okukwatibwa olunaku lw’eggulo Kkooti yeemu eno era esindise akulira ebyokulambula amasomero mu disitulikiti eno Charles Lwanga ku meere ng’emulanga kusaba kyoja mumiro