OKUFA KU BANNAMAGOYE: Kyaddaaki gavumenti eriko ensimbi zetaddewo
Gavumenti etadde ssente obuwumbi 17 mu mbalirira y'ebyensimbi, zino nga zigenda kulabirira baana n’abantu ab'ekikula kya namagoye. Guno gwe mulundi ogusoose gavumenti okuvaayo n'enkola eno okulabirira banamagoye abateberezebwa okuba nga basukka mu mitwalo ebiri mu uganda. Kamiisona w'abavubuka n’abaana mu minisitule y'ekikula ky'abantu Mondo Kyateka abyogeredde ku mukolo ogwokujukirirako olunaku lw'omwana wa Africa wano mu Kampala.