OKUDDAMU OKULONDA: E Busongora owa NUP asunsuddwa, aba FDC bawera e Bukimbiri
Ssaabawandiisi wa FDC, Nathan Nandala Mafabi agamba obuwagizi bwa NUP eri munna FDC James Owebeyi tannabulaba newankubadde ekibina kya NUP kyajja omuntu waakyo mu lwokaano mu kalulu k'okuddamu okulonda omubaka wa Bukimbiri. Yo e Kasese, munna NUP, Jackson Mbaju asunsuddwa okuvuganya ku kifo ky'omubaka wa Busongora South mu kulonda nga nakwo ka kuddibwamu.