OKUBULANKANYA SSENTE ZA COVID-19: Akulira eby’obulamu mu disitulikiti ye Rubirizi kaliisoliiso amukutte
Kalisoliiso wa Gavumenti akutte Dr Tibenda Sete ne Jennifer Kyarimpa okuva mu distulikiti ye Rubirizi. Dr Tibenda y’akulira ebyobulamu so nga Kyarimpa mumyuka w'avunanyizibwa ku kusomesa eby'obulamu. Kigambibwa nti Dr Tibenda aliko ssente ezisoba mu bukadde 82 zeyajjayo ku nsonga z'ebyobulamu kyokka n’ekizuulibwa nti tezaakola mirimu nga bwekyetaagisa . Ye Jennifer Kyarimpa agambibwa okujjayo obukadde obusoba mu 22 ku mirimu gy'okutendeka ebyobulamu kyokka , kyazuulidwa nga tewali kyakolebwa ate ne lisiiti njingirire. Bano basuubirwa okulabikako mu kkooti ewozesa abalyake olunaku lwenkya..