Okubba eddagala lya gavumenti: Abasawo e Ziroobwe bakwatiddwa
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'eddagala mu ggwanga ki National Drug Authority kikute abasawo bataano n'abantu abalala babiri abateeberezebwa okwenyigira mu kubba eddagala mu malwaliro ga gavumenti. Kino kiddiridde ekitongole okukola ekikwekweto mwekyakwatidde omukazi abadde atunda eddaga lino ,nga ono yeyalonkomye banne baabade akola nabo. Bano kati bakuumirwa ku kitebe kya poliisi mu kampala , gyebanaggyibwa okutwalibwa mu mbuga z’amateeka babitebye