Obunyazi bwa ‘mobile money’: omubbi akubiddwa amasasi e Kitintale
Omujaasi wa UPDF mu bitundu by'e Kitintale, aliko omusajja agambibwa okuba omubbi gw'akubye amasasi agamutiddewo oluvannyuma lw'okujja ng’akuba amasasi mu bbanga okuliraana ne w'akuuma. Kigambibwa nti omugenzi abadde ava kunyaga wa Mobile Money obukadde obusoba mu 160 era munne bwe babadde ategeerekese nga ye Farouk Matovu abatuuze bamwekwatiidde nebamukwasa poliisi.