OBULUMBAGANI KU POLIISI: Minisita Muhoozi abuulidde palamenti ebyakazuukawo
Minisita omubeezi ow'ensonga ez'omunda Gen David Muhoozi ategeeza palamenti nti obulumbaganyi obukolebwa ku poliisi ensangi zino bwabantu abaagala okutabangula emirembe . Kyoka ababaka tebabadde bamativvu kubanga ono tavuddeyo okwogera bantu oba kabinja kali mabega wa bulumbaganyi buno , nekigendererwa kyako . Muhoozi okwogera bino abadde ayanukkula omubaka wa Kalungu West Joseph Ssewungu nga ayagala okumanya ebikwatagana ku bulumbaganyi obuze bukolebwa ku Poliisi