Obubenje bwa bbaasi ku nguudo: Poliisi egamba abamu abazivuga babeera batamiivu
Ekitongole kya Poliisi y’ebidduka ne minisitule y’ebyentambula baweze nti okutandika olunaku lw'enkya bagenda kwongera ebikwekweto bya kawunyemu eri abagoba ba bbaasi.
Kiddiridde okuzuula nti bangi ku bagoba ba bbaasi bano bavugga mmotoka zino nga batamidde ekiviirako obubenje. Okwogera bino bano babadde basisikanye bannannyini bbaasi mu ggwanga okutema empenda ku butya bwebagenda okutambuza emirimu naddala mu biseera bino eby’ennaku enkulu ebisembedde.