OBUBAGA BW’AMAZAALIBWA N’EBYOBUFUZI: Waliwo abasabye Gen Muhoozi asooke ave mu magye
Bannauganda ababadde bakubaganya ebirowoozo ku demokulasiya mu Uganda basabye amaggye okukoma ku muddumizi w’amaggye agokuttaka Lt Gen Muhoozi Kainerugaba akomye ebyokwenyigira mu byobufuzi okutuusa nga agavuddemu. Pulofesa Julius Kiiza okuva ku yunivaite e Makerere agamba okukuza amazalibwa ga Gen Muhoozi okwetabiseemu eby'obufuzi kukolebwa mu bumenyi bw'amatteeka. Mu nsisinkano etegekeddwa ebibiina by'obwanakyewa basabye gavumenti okwanguya okukola ennongosereza mu mateeka g'ebyokulonda.