NNAMBA ZA MMOTOKA EZ’EKIKUNGU: Abaaliko abakozi mu EAC basabiddwa okuzikomyawo
Ababaka abatuula ku kakiiko akalondoola ensasaanya y’ensimbi mu mukago gwa East Africa baagala abo bonna abaaliko abakozi mu mukago era nga bafuna motoka eziriko namba z’omukako, namba zino bazikomyewo bateekeko ezaabulijjo .Mu alipoota yabwe gyebasomedde palamenti y’omukago ezemu okutuula olwaleero mu kibuga Arusha e Tanzania, bagamba nti ezimu ku motoka zikozebwa bubi ekityoboola erinnya ly’omukago.Kyoka kino abamu ku babaka bakiwakanyiza era nebawera nga bwetaja kuzaayo namba za motoka zabwe singa ekisanja kyabwe kigwako.