NAKINTU EYAGYIBWAMU ENSIGO: Abaamutwala ku kyeyo bagamba baamanya bya kabenje byokka
Aba Kampuni ya Nile Treasure Gate eyatwala omuwala Judith Nakintu mu Ggwanga lya Saudi Arabia okukuba ekyeeyo gyagambibwa okugyibwamu emu ku nsigo ze baagala poliisi ereete mu kkooti abantu babwe abakwatibwa ku nkomerero ya wiiki ewedde. Bano bagamba betegefu okuyambako Judith Nakintu okulaba ng'afuna obwenkanya ng'era baliko n'omusango gwebatutegezezza gweyawangudde edda nga agenda kuliyirirwa.