Mwegendereze ba ssaalumanya - Ab’eddembe balabudde amagye ga Uganda ne Congo
Ekitongole ekirwanirira edembe ly'obuntu ekya Amnesty International kikalaatidde amagye ga Uganda ne Dr Congo okulaba nga beewala okusuula ebikompola ku ba ssaalumanya bwebaba baffeffetta abayeekera ba ADF. Okuva olwokubiri aba UPDF bazze bakozesa ennyonyi ennwanyi okukasuka ebikompola ku nfo za ADF.