Mujje akajanja ku mutimbagano: Akulira amakomera ayisizza ekiragiro eri ba ofiisa
Akulira Ekitongole Ky’amakomera alabudde abasirikale b’amakomera bonna okukomya bunnambiro okukozesa obubi emikutu emigattabantu oba Social media nga batimbako ebifaananyi n’obutambi nga bali ku mulimu mu yunifoomu y’amakomera. Yenna anaakikola waakukangavvulwa nga amateeka bwe galagira.