Mu Zungulu : Tukuletera eby'a Nyege Nyege
Wiiki eno ekivvulu kya Nyege Nyege lwekyatandise okutojjera. Ekyewuunyisa bangi ku baliyo bwobabuuza ekigambo nyege nyge kyekitegeeza basigala bakutunuulidde. Newankubadde ababaka ba palementi baalabuddwa obutakyetaabamu, bakalambidde nti baliko ba minisita be baagala okulingiza okulaba ekinaaba kibatutteyo.