Manya endwadde ez’okwerinda ng’oli lubuto | OBULAMU TTOOKE
Omukyala bw'abeera olubuto obulamu bwe bukyukira ddala olw’omwana gwabeera asitudde munda. Abasinga obungi endwadde zibeera zanguyirwa okubakwata olw’omusaayi gwabwe okunafuwa. Mu ndwadde zetwogerako ne Pulesa mweri, era nga olwaleero twagala okumanya eva ku ki era biki by'oyinza okukola n’okendeeza ku matiga g’okugifuna.