Liigi y’eggwanga eddamu enkya, egenda kuggulawo n’emipiira esatu
Liigi y’eggwanga eggyibwako akawuuwo olunaku lw’enkya n'emipiira esatu ku bisaawe okuli Muteesa II e Wankulukuku, Kakyeka e Mbarara ne Green Light stadium mu Arua. Ensegeka y’emipiira gya liigi yafulumizidwa sabiiti eno wabula nga abaaliko bannantameggwa ba liigi aba SC Villa balekeddwa bbali.