Kontulakita z’okukola enguudo mu Kampala zimaze neziweebwa ba kkansala
Kyaddaaki kontulakiti ezikwatagana ku nguudo ezirina okuddaabirizibwa n'ezo ezaakolebwa mu Kampala zikwasiddwa olukiiko lwa KCCA . Kati zinozigenda kukwasibwa akakiiko ak'okuntiko akakulemberwa loodi meeya Erias Lukwago okusobola okuzeekenneenya.