KKANSA MU BAANA: NMG yeegasse ku basonda ez’okuzimba awajjanjabirwa abaana
Ab’ekitongole ky'amawulire ki Nation Media Group - NMG - batadde omukono ku ndagaano n’aba Uganda Cancer Institute awajjanjabirwa kkansa okusonda obuwumbi bwa sillingi 2 okubangawo ekifo awanaakolerwako abaana abalina kkansa. Mu ndagaano abakulu bakkaanyizza nti emikutu gya Nation Media Group, okuli ne NTV gy’oliko kati, gye yambisibwe okumanyisa abantu obwetaavu buno n’okusomesa ku bikwata ku kkansa mu baana. Buli mwaka, abaana 3,000 be bagenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi bwa kkansa