KKAADI Z’EMBAGA: Omutimbagano gukyusizza embeera
Nazikuno nga kaadi z'emikolo naddala embaga nga zettanirwa nnyo, era nga abategesi batetenkanya nga bwebasobola okulaba nga zituuka ku abo bezisindikiddwa. Wabula embeera ya COVID-19, saako tekinologiya okukyuka, kati bangi bagenze ebyokukuba kaadi ezomukyapa babivaako nga kati obubaka babuweereza ku mikutu nga WhatsApp, Messenger oba email. Kati katukubulire emiganyulo egiri muno, saako okufiirizbwa eri abo abalemedde mu nkola enkadde.