JOYCE MPANGA: Palamenti emukungubagidde
Ababaka b'oludda oluvuganya mu palamenti basazeewo okuyimirizaamu okwediima kwabwe olwaleero basobole okukungubagira eyaliko Minisita w'ebyenjigiriza Joyce Mpanga .Akulira oludda oluvuganya gavumenti Mathias Mpuuga agambye nti wabula bakyegenda mu maaso n'okwediima kwabwe kwebaliko okw’obuteetaba mu ntuula za palamenti . Bano bakyalambidde nga baagala gavumenti eveeyo ku ky'abantu babwe bebagamba nti babuzibwawo ab'ebyokwerinda era nga tebamanyiddwako mayitire .