HASIFA NASSUNA: Yawezezza ggoolo 100 mu liigi y'omupiira gw'abakyala
Hasifah Nassuuna omuteebi wa tiimu ya UCU eyabakyala abasamba ogwebigere yafuuse omuzannyi asoose okuweza ggoolo 100 mu by’afaayo bya liigi eno bukya etandikibwawo mu mwaka gwa 2015. Mu myaka omunaana gy’amaze mu liigi eno Nassuuna tasambirangako bweru wa ggwanga nga kati ekirooto kye kyakusambirako mu nsi ndalaOno yayogeddeko n'omusasi waffe, Sharifah Nambi mu mboozi eyakafubo.