GEORGE KASUMBA: Yabuzibwawo mu 2021, nakati abantu be bakyanoonya
Ng’okutya kwongera okusensera bannansi ku kiwamba-bantu ekitazikira, abo abazze bawambibwako abaabwe bangi nakati tebabalabanga, obulamu bwongera okubakaayira buli lukya. Mu district y’e Kyotera eyo, waliyo famile eri mu kulajaana nti bukya muntu waabwe awambibwa omwaka oguwedde nakati tebamanyi gyali . Kati bano essuubi bagamba lyabaggwamu dda, nga kyebaagala be bakulu okubawa ebisigalira by’omwagalwa waabwe bamuziike.