Gavumenti etandise okugaba emmere eri abakoseddwa enjala e Karamoja
Okugaba emmere eri abakoseddwa enjala mu bitundu bye Karamoja kutandise oluvannyuma lw’obuyambi obwasindikiddwa gavumenti okutandika okutuuka. Enteekateeka etandikidde ku kitebe ky’e gombolola ye Iriiri mu district ye Napak ewali abatuuze abakoseddwa ennyo enjala. RDC w'ekitundu Kino Denis Okori atubuulidde nti okugaba emmere kwakukulungula emyezi esatu.