Gavumenti efulumizza enteekateeka ya buwumbi okulwanyisa ebibamba
Gavumenti efulumiza enteekateeka ya buwumbi bwansimbi omutwalo mulamba (10 trillion) okuziyiza n’okulwanyisa ebigwa bitalaze nga amataba n’okubumbulukuka kw’ettaka mu uganda.Enteekateeka eno eyanjudwa eri abavujirira Uganda ssente wano mu Kampala. Omumyuka wa Ssaabaminisiita ow’okusatu Rukia Isanga Nakadaama yayanjudde enteekateeka eri abagabi b'obuyambi.