Gav’t mmalirivu okusigala ngevujjirira kaweefube okulwanyisa omusujja gw’ensiri
Gavumenti yeyamye okuziba eddibu mu buvujjirizi eri enteekateeka z'okulwanyisa omusujja gw'ensiri okulaba ng'etaasa obulamu bwabannansi baayo . Kitegeerekese nga Uganda bwe yasaliddwako obukadde bwa Doola za Amerika 30 nga mu zaakuno bwe buwumbi obusukka mu kikumi zeebadde efuna okuva mu Global Fund okulwanyisa omusujja gw'ensiri. Abakulu mu minisitule y'ebyobulamu bagamba nti yadde nga waliwo enteekateeka ezaayimiriziddwa, empeereza ezisaanidde mu kujjanjaba obulwadde buno weeziri mu malwaliro ga gavumenti okwetoloola eggwanga.