OKUSUNSULA ABAAGALA BENDERA:Akakiiko k’ekibiina kaakutalaaga ebitundu ebirala
Abakulira ekibiina ki NUP bategezeza ng’akakiiko k’eby’okulonda mu kibiina ka Election Management Committee bwekagenda okutalaaga ebitundu by’eggwanga ebirala okusunsula abeegwanyiza okuweebwa kaadi y’ekibiina mu kulonda kwabonna okusuubirwa okubaayo omwaka ogujja ogwa 2026. Okusinziira ku Ssaabawandiisi wa NUP, abali ku ddimu ly’okusengejja abeetaga kaadi bakwegabanyaamu ebiwayi okulaba nga tewali kitundu kifikka. Kino kyakukolebwa ng’akakiiko ak’enjawulo akaatereddwawo bwekekeneenya abo abawereddwa kaadi mu bifo nga kampala ne Wakiso ebyasoose okusengejjebwa.