OKUJJANJABA ENDOMETRIOSIS :Nakato ne Nagawa baliko bye baagala bikolebwe
Mu kitundu kyaffe ekisembayo ku mboozi ezikwata ku kirwadde kya Endometriosis, Stella Nakato ne Grace Nagawa abawangaala n'ekirwadde kino baagala wabeewo kaweefube w’okumanyisa abantu ku kirwadde kino n’okwongera okutendeka abasawo ku ngeri y’okizuulamu kko n’okukirongoosa. Bano bakakafu nti singa kino kikolebwa abakyala bangi bajja kuyambibwa okuyita mu mbeera eno.