“NFA OBWAVU” Eyazannya nga Museveni mu firimu ya ’27 guns’ g’akaaba g’akomba
Omuntu okuyitimuka mu by’okuzanya firimu kitera okugererwa mu nsimbi omuzannyi zaaba afunyeemu,kko n’engeri abantu gyebasobola okumumanya katugeze nga atambula mu kkubo. Kyoka olumu,omuntu ekifo kyazanya olumu kiyinza okumuzimba mu bantu oba okumukyaya. Kati waliwo omuvubuka Arnold Mubangizi, eyazannya nga Yoweri Museveni ng’akyali mu nsiko mu firimu ya 27 Guns - kyoka yye mu kifo ky’okufuna ettutumu yeevuma ekyamutwalayo,era kati mwavu gwoyinza okuyita empongabyooya.