Faaza Lokodo afudde
Eyaliko minisita w’empisa n’obuntubulamu nga kati abadde kamiisona mu Kakiiko k’eddembe lyobuntu Rev. Father Simon Lokodo afudde. Lokodo asizza ogwenkomerero amakya ga leero mu kibuga Geneva mu ggwanga lya Switzerland ku myaka 64.