EYEEYIMIRIRA EYABULAWO :Kkooti emuwadde ssabiiti bbiri okumunoonya
Kkooti ya Buganda Road ewadde Michael Kolulye ssabiiti endala bbiri okuwenja kizibwe we Yasin Jerwa gweyeeyimirira natadda mu kkooti yonna gyali amuleete.Kolulye yeeyimirira Jerwa ono mu April wa 2024 wabula ono nataddamu kulabikako mu kkooti n'okutuusa olwaleero.Ono ategezeezza omulamuzi Gladys Kamasanyu nti amagye ga UPDF Jerwa gaweereza ng'omukuumi w'omu ku ba general abaawummula, gegabalemesezza okuleeta omusibe.