EYAWAMBIDDWA E SOUTH SUDAN: Gavumenti egamba ensonga ezigoberera
Gavumenti etegeezezza nga bwemanyi ku nsonga za Munnayuganda Joseph Opoya eyawambibwa mu gwanga lya South Sudan wiiki ewedde nga n'okutuusa kati tamanyiddwako mayitire. Opoya yawambibwa ne munnasi w'eggwanga eryo mu tawuni ye Tombora gye yali agenze okukebera ku mirimu gye egy'okuzimba. Minisita Omubeezi ow’ensonga zebweru w'eggwanga Okello Oryemu agamba nti bakola ekisoboka okuzuula Opoya.