Eyali awambibwako ebya kitaawe afunye obwenkanya
E Kajansi okumpi ne Kampala wewali omuwala afunnye ku buweerero oluvanyuma lwa kkooti okulagira Kitaawe omuntu okwamuka eby’obugagga kitaawe byomuwala ono byeyaleka naye nga yali yabimugibamu omuli n’amaka .Ekibiina ki Redeem International kyekyatwala ensonga zino mu kkooti ekyasobozeseza Hindu Nabirwo okufuna obwenkanya .Ono ye mwana yekka bakadde bombi abakadde gwebaleka era nga amaze emyaka 11 nga anoonya bwenkanya .