ETTEEKA KU KUKOZESA KOMPYUTA: Waliwo abalabudde bannamawulire nti emirimu gya kukaluba
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu n’erya bannamawulire bagamba obuwaayiro obwagattiddwa mu tteeka lya Computer MisUse Act eryakyusiddwamu bwa kukosa omutindo gw’amawulire n’okukalubya omulimu gwabwe olw’okubeetaagisa okusooka okufuna olukusa ku muntu gwe baggyeeko amawulire nga tegannaba kusaasaanyizibwa. Kyokka bagamba, wakyaliwo amakubo bano ge bayinza okuyitamu okweganga nga kw’otadde n’okujulira ku tteeka lino mu kkooti.