Envumbo ku bakungu ba gavumenti: Ddala zirina kyezikosa eggwanga
Ku lwokutaano lwa ssabiiti ewedde, nga abalwanirira eddembe ly'obuntu betegekera okukuza emyaka 75 mu kaweefube ono, gavumenti y'america yasalawo okuteeka envumbo ku bantu amakumi abiri mu mawanga ag'enjawulo.
Mu Uganda gwebakalize ye Akulira ekitongole ky'amakomera Dr Johnson Byabasaija.
Ekigendererwa ky'envumbo zino America erowoooza zakuyamba okunnyikiza enkola y'eddembe ly'obuntu mu mawanga gano. Waliwo abagoberera ensonga betwogeddeko nabo nebatukubira ttooki mu nvumbo eno.