ENTANDA YA 2022: Nabbanja asabye bannauganda okukozese emirembe egiriwo okwejja mu bwavu
Ssaabaminisita wa uganda Robina Nabbanja asabye bannauganda okukozesa omukisa gw’emirembe egiri mu ggwanga okulaba nga bekulaakulanya naddala mu mwaka guno ogwa 2022. Ono era asabye bannuganda okuwuliriza ebiragiro bya b’ebyobulamu okwewala okukwatibwa obulwadde bwa Covid -19. Bino abyogeredde Kakumiro gyabadde mukusaba mu masinizizo ag’enjawulo.