ENSONGA Z’ABALAALO MU MAMBUKA: Ssaabaminisita yegaanye ekya gavumenti okubawagira
Gavumenti yeeganye okubeera emabega w’abalaalo abesenza ku ttaka ly’abatuuze mu mambuka g’eggwanga, nga abamu bwebalowooza. Mu nkungaana z’atuuzizza e Pakwach ne Gulu, Ssaabaminisita Robinah Nabbanja agumizza ab’ebyokwerinda okugenda mu maaso nekyokugoba abatalina bwananyini ku ttaka mu bitundu ebyo, gyebabadde beefudde bannantagambwako, nga bategeeza nga Pulezidenti Museveni bweyabalagira. Bbo abakulembeze b’ebitundu bino bagamba abalaalo babajoogedde omwabwe nebakamala, wabula nga mpaawo kyakubakolera, nga batebereza nti baliko abanene ababali emabega kubanga nemisana ttuku, abamu bakaalakaala n’emmundu.