ENSISINKANO NE MUSEVENI: Abasawo batubuulidde ebyatuukiddwako
Wadde nga baasisinkanye omukulembeze w’eggwanga akawungeezi k’eggulo, abakulira abasawo mu kibiina kya Uganda Medical Association bagamba ssibakusazaamu kediimo kebalimu okutuusa nga ensonga ezakkanyiziddwako ziteereddwa mu buwandiike era ezimu nezituukirizibwa. Ssaabawandiisi w’ekibiina kino Herbert Luswata agamba wewaawo balina webatuuse ku byebazze basaba naye tebayinza kwesiga bigambo kubanga enfunda nyingi gavumenti ezze ebasuubiza wabula netatuukiriza.