ENSAMBAGGERE: Bamweyana ne Musisi balemaganye
Abazannyi b’ensambaggere okuli Kawagga Bamweyana ne Breaker Breaker Musisi abaludde nga buli omu yewerera munne ekiro ekikeesezza olwa leero battunse mu lulwana lw'ensimbi oluggweredde mu maliri e Nansana . Kati bano baagala lulwana lwa kuddingana.