Enkuba esuubirwa okuba ensaamusaamu mu myezi egijja
Ekitongole ky’enteebereza y’embeera y’obudde mu Uganda kitegeezezza nga mu myezi esatu egijja okutandika n'ogwomukaaga gwetulimu, enkuba bw’egenda okuba entono ddala mu bitundu by’omu bukiikaddyo bwa Uganda ate mu bukiikakkono n’obuvanjuba enkuba yaakuba nnyingiko okusinga ku ya bulijjo. Ab’omu bitundu eby’enjawulo baweereddwa amagezi ku ngeri y’okweteekerateekeramu ekiseera kino