Enkuba e Kasese erese etikudde obusolya bw’essomero lya kabirizi
Eby’okusoma by’abayizi 114 mu ssomero lya Kabirizi Primary school mu distilikiti y’e Kasese bizeemu kigoye weezinge oluvanyuma lw’enkuba eyamaanyi okutikula obusolya ku bizimbe mu ssomero linno. Okusinzira ku Wilson Baluku akulira essomero linno, amabaati 100 geegatikuddwa ku bizimbe 3 eby’essomero lino kibuyaga omuyitirivu eyanjidde mu nkuba.