ENKOZESA YA SOCIAL MEDIA: Omubaka Nsereko aliko ebbago ly’aleeta mu Palamenti
Waliwo ebbago ku nkozesa y'emikutu gya Social Media Omubaka wa Kampala Central Muhammed Nsereko lyateekateeka okwanja eri palamenti. Mu bbago lino omuntu aba asingisiddwa ogw'okukozesa obubi emikutu gino ayinza okuweebwa ekibonerezo kyakusasula engassi ya bukadde ataano oba okusibwa emyaka 10. Nsereko agamba nti abantu bongedde okusiiwukira empisa ku mikutu gyino nga kyetaagisaawa etteeka okubalungamya.