ENKOLA YA KIZAALAGGUMBA: Abakugu bagamba wakyetaagisaawo okumanyisibwa
Abakugu abalondoola enkola ye kizaalaggumba mu gwanga bagamba wakyaliwo obwetaavu bw’okumanyisa ebikwata ku nkola eno eri banayuganda. Wadde ng’ebiriwo mu kiseera kino biraga nti banayuganda bongedde okwetanira enkola eno, bangi bakyasanga okusomozeebwa okufuna ebikozesebwa mu nkola eno.