ENKOLA YA BONNA BASOME: Gav’t yaakutunuulira n’ebyenjigiriza bya nnasale
Gavumenti etandise okulowooza ku kyokwenyigira mu byenjigiriza ebisookerwako kiyite nasale ng’emu kungeri y’okwongera okutumbula eby’enjigiriza mu gwanga. Okusinzira ku John Chrysestom Muyingo minisita omubeezi obw’enjigiriza ebya waggulu, gavumenti ekizudde nti okutereeza eby’enjigiriza kyeteega kutandikira ddala ku musingi gw’enyini Kyokka Muyigo akaatirizza nti gavumenti yakwongera amaanyi mu kunyweza okusoma kw’aboona basome okulaba nti abayizi abasomera wansi w’enkola bafuna eby’enjigiriza ebituukagana n’omutindo.