ENKALU KU TTAKA: Nabbanja ayingidde mu za uwa n’abatuuze ba Elgon
Ssaabaminsita Robina Nabbanja alagidde minisitule y’eby’ettaka n’ekitongole ekivunanyizibwa ku bisolo eby’omunsiko ki Uganda Wildlife Authority okuvaayo bunnambiro balambike ensalo z’ettaka ly’ekuumiro ly’ebisolo erya Mt. Elgon National Park okulyawula ku ly’abatuuze abetoloddewo. Nabbanja olunaku lw’eggulo yabitaddemu engatto nayolekera ekitundu ky’e Bugisu ku biragiro by’omukulembeze we ggwanga okugonjoola obutakaanya wakati w’abatuuze n’ekitrongole ekya UWA nga buno bamaze emyaka egisoba mu ana.